Maranatha Global

The Spirit and the bride say, “Come!” – Rev. 22:17

Luganda (Ganda)

A major language of Uganda, spoken by over ten million. Also called “Ganda”

6
Aug

uganda-map_flagMaranatha Christian Church ye nzikiriza entunge obulungi, ekkiririza mu Baibuli, era erina enkumi n’enkumi z’amakanisa okwetoloola ensi yonna. Abakkiriza baayo bali mu America Eyegasse, America ey’amaserengeta ne mu Buyindi. Kyokka ng’omulimu guno gwatandika n’ekibinja ky’abakkiriza kimu bumu kiti mu Brazil emyaka 40 egiyise!

Tuli ddala ku mazima eg’enkukunala ag’enzikiriza y’Ekikulisitaayo (ng’otwaliddemu n’okukkiriza mu Bwa Katonda obusatu, nti era yesu ddala Katonda, obutuufu bw’ebyawandiikibwa, obukulu bwakakwate ke tulina ku yesu Kristo ng’abantu n’okukola n’obuvumu mu Mubiri gwa Kristo). “ Maranatha” Ku bwakyo kigambo kya Luyonaani – Aramaic olukadde ekyategeezanga nti “Mukama ajja mangu” ob anti “Ai Mukama jangu mangu” kiri mu ndagaano Empya, mu Bakkoliiso 16:22 (Ekiganbo ky’olulimi lwa Aramiac ekyo kyakoppebwa mu lulimi oluyonaani. Ekigambo ekyo kyakoppembwa ne mu Luzungu awamu n’ebigambo by’Olw’ebbulaniya (“Allaluia” ne Ozaana bye bigambo ebirala ebya bulijjo byetuyinza okunokolayo).

continue

Tags : , , , , , , , , , ,
Category : Luganda (Ganda) | Blog
6
Aug

ugandaEkimu ku by’okuyiga makama by’ayitidde amakanisa gaffe okussaako essira ge manyi g’Omusaayi gwa yesu Kristo ogununula. Mu musaayi gwa Yesu mwe tufunira obulokozi, okusonyiyibwa, n’Omwoyo Omutukuvu okukolera munda muffe.

Kino si kye kijje kivumbulwe, era si mbuula mpya. Embuulira eno yava dda- emiko gya Baibuli gujjudde emboozi n’okuyigiriza okukwata ku saddaaka Z’omusaayi-newankubadde ebibiina ebipya eb’rddiini bingi birabika nga ebikwerabidde oba ebyakuvaako. Yesu yayanjulwa eri abantu okuviira ddal ku ntandikwa nga “omwana gw’endiga gwa Katonda ajjawo ebibi by’ensi”. (Yokaana 1:29). Abayigiriswa baasomesaabakulisitaayo abasooka nti “ awatali kuyiwa musaayi tewali kusonyiyibwa bibi” (laba eky’okulabirako, Ab’ebbulaniya 9:22). Era baasomesa nti yesu yatuukiriza ekyetaago kino bwe yeewaayo ku musaalaba. Katonda atugambye okukkaatiriza ekintu kino mu kukkiriza n’okukola Kwaffe, kinnoomu oba nga ekibiina ky’abakkiriza. Kuno kwe kusomesa okwa wakati mu makanisa ga Maranatha mu nsi yonna.

continue

Tags : , , , , , , , , , , , , , ,
Category : Luganda (Ganda) | Blog
6
Aug

ugandaEbikolwa bya batume 13:20-22.

20 “Oluvannyuma lw’egyo n’abawa abalamuzi okutuuka ku nabbi Samwiri.  21 Oluvannyuma ne baagala kabaka ; katonda n’abawa Sawulo omwana wa kiisi wa mu kika kya Benyamini, n’amala emyaka amakumi ana. 22 Bwe yamugyaawo oyo, n’abayimiririza Dawudi okuba kabaka waabwe, gwe yayogerako ng’amutegeeza nti Ndabye Dawudi, omwana wa yese, omuntu ali ng’omutima gwange bwe gwagala, anaako langa bye njagala byonna.’’

Mukama bwe yatandika okukolera wakati mu ffe – mu kibiina ekyamanyimbwa oluvannyuma nga Maranatha – ekimu ku bikuuno ebyasooka kyali kya Baibuli kutulamukira mu ngeri empya, etabangawo. Omwoyo gwatandika okututwala mu maaso g’ebbaluwa, ne tutakoma ku kusoma ku kitundu ku ngulu, naye ne tusensera mu bubaka bw’obunabbi obuwanvuko obuli mu buli lugero nabuli kitundu. Kyerambika bulungi nti Endagaano Enkadde yonna yasonga ku kujja kw’omulokozi, Yesu kristo, n’omulimu gw’obulokozi gwe yali agenda okutukolera. Omulimu gwa katonda ogw’obulokozi ogugenda gweyanjuluza gwe mulamwa ogw’enkalakkalira ogubukkadde mu Byawandiikibwa. Omulimu gwa katonda gutera nnyo okukontana n’emirimu gy’omuntu, ng’omuntu, ng’otwaliddemu emirimu gy’omuntu egy’eddiini egitegekeddwa mu bugenderevu ddala okugoberera ebirowoozo by’abantu n’entegeka yabwe mukifo ky’ebyo katonda by’ayagala.

continue

Tags : , , , , , , , , , , , , , , , ,
Category : Luganda (Ganda) | Blog
6
Aug

ugandaOKUZUUKIZA LAZAALO - Yokaana 11:38-44

“Awo Yesu bweyasinda ate munda ye, n’atuuka kuntaana. Yali mpuku nga etekeddwako ejjinja ku ngulu. Yesu nagamba nti mujjeewo ejjinja.

Maliza, mwanyina w’oli eyafa namugamba nti Mukama wange, kaakano awunya. Yesu namugamba nti sikugambye nti Bw’onkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda? Awo nebajjawo ejjinja Yesu nayimusa amaaso waggulu, n’ayogera nti: Kitaange nkwebaza wampulira. Nange nnamanya ng’ompulira bulijjo: naye njogedde kulw’ekibiina ekinetolodde bakirize nga ggwe wantuma.Bweyamala okwogera bw’ati n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene nti Lazaalo, fuluma ojje. Eyali afudde n’afuluma ng’ azingidwa mu mabugo amagulu n’emikono, n’ekirembe nga kisibiddwa mumaasoge. Yesu n’abagamba nti “mumusumulule mumuleke agende”.

continue

Tags : , , , , , , , , , , , , , ,
Category : Luganda (Ganda) | Blog
6
Aug

uganda-map_flagOMUBIRI GWA YESU: OKWANJULA

1 Abakkolinso 12:12-13 – “Kuba omubiri nga bwe guli’ ogumu ne guba n’ebitundu ebingi n’ebitundu byonna eby’omubiri, newakubadde nga bingi, gwe mubiri gumu; era ne Kristo bw’atyo.  13 Kubanga mu Mwoyo omu fenna twabatizibwa okuyingira mu mubiri gumu, oba Bayudaaya oba Bayonaani, oba baddu oba ba ddembe; fenna ne tunywesebwa mu Mwoyo omu.”

Buli kkanisa oba enzikiriza erina enjigiriza ezimu enzenjawulo, essira, oba enkola ezivaamu ekimu ku bitundu ebigitongoza, ne bijawula ku ndala. Ku ludda lw’ekkanisa zaffe, emu enjigiriza eri mu makkati ye: Ekkanisa nga Omubiri gwa Kristo. Enzikiriza zaffe ezikwata ku Mubiri zisinziira ku kukkiriza mu kubikkulirwa kwa Katonda – tukkiriza nti Omwoyo Omutukuvu akyayogera ennaku zonna. era ayagala okulungamya n’okuyigiriza abantu ba Katonda; bwe kityo tukkirirza nti Omubiri gwa Kristo gwa manyi mangi, mulamu, bulijja kunyiga era gwolekedde ekigendererwa. Engeri eno gye tutegeera omubiri tugyekuusaako nga tuli ku by’eddiini, okubuulira enjiri, obulokozi, engeri hye tukwatamu ebirabo by’omwoyo, okusinza n’ensimbi z’ekkanisa.

continue

Tags : , , , , , , , , , , , , , ,
Category : Luganda (Ganda) | Blog
6
Aug

ugandaOMUBIRI N’BIRABO BY’OMWOYO - 1 Abakkolinso  Essuula 12

12 “Kuba omubiri nga bwe guli’ ogumu ne guba n’ebitundu ebingi n’ebitundu byonna eby’omubiri, newakubadde nga bingi, gwe mubiri gumu; era ne Kristo bw’atyo.  13 Kubanga mu Mwoyo omu fenna twabatizibwa okuyingira mu mubiri gumu, oba Bayudaaya oba Bayonaani, oba baddu oba ba ddembe; fenna ne tunywesebwa mu Mwoyo omu.”

Okutegeera Omubiri kwekuusa ku ngeri gye twangangamu ebirabo by’omwoyo, gamba nga okutegeeza ebirobaawo, okuwonya, okwogera ennimi, n’ebirala. Era kufuga engeri gye tukwatamu enjiri, obulokozi, okusaba, okusinza – leero buli kikolebwa mu bulamu bwEkikristaayo.

Ennaku zino abakristaayo bangi – yadde n’abo ab’ekkanisa ez’ennono n’ez’omugendo – bettanira ebirabo by’Omwoyo n’kukola Kw’omwoyo Omutukuvu mu kkanisa. Anti era ku kino kw’olabira ekkanisa za pentecote ne Karismatika. Waliwo ebitabo ntoko n’emisomo egikwata ku ngeri ey’okuvumbula n’okukozesa ebirabo byomwoyo eby’omuntu ye ku bubwe.

continue

Tags : , , , , , , , , , , , , , ,
Category : Luganda (Ganda) | Blog
6
Aug

uganda-map_flagOMUBIRI N’OBUWEEREZA1 Abakkolinso  Essuula 12

12 “Kuba omubiri nga bwe guli’ ogumu ne guba n’ebitundu ebingi n’ebitundu byonna eby’omubiri, newakubadde nga bingi, gwe mubiri gumu; era ne Kristo bw’atyo.  13 Kubanga mu Mwoyo omu fenna twabatizibwa okuyingira mu mubiri gumu, oba Bayudaaya oba Bayonaani, oba baddu oba ba ddembe; fenna ne tunywesebwa mu Mwoyo omu.”

Engeri gye tutegeeramu omubiri engeri gye twolekeramu obuweereza, okubuulira enjir, obulokozi engeri gye tukwatamu ebirabo by’omwoyo, essaala n’okusinza – kwe kugamba buli nkola ey’obulamu bw’Ekikulistaayo.

continue

Tags : , , , , , , , , , , , , , , ,
Category : Luganda (Ganda) | Blog
6
Aug

ugandaOKUTTUKIZA  (REVIVAL)

AI MUKAMA, zuukiza omulimu gwo wakati mu myaka! - Kaabakuuku 3:2 (NKJV)

Okuttukiza ge makulu agali mu Baibuli, mukama mwadiza obugya omulimu gw’Omwoyo gwe mutukuvu mu bulamu bw’a bakkiriza wakati mu mubiri gwa Kristo. Ekintu kyonna Mukama kye yakola mu biseera ebyedda, asobola okukikola leero. Mukama yegomba abaweerezaabe okuttukuzibwa n’okuzzibwa obugya buli  lunaku- “akisa kye kiba kiba kipya buli kiseera” (okukungubaga 3:23) . Abaweeraza ab’ amzima kino bakisabira, nga kaabakuuku bwe yakola, naye essaala ya Baibuli erimu akakwate akasonga munaku ezisembayo nga ekanisa tennayabulukuka.

continue

Tags : , , , , , , , , , , , , ,
Category : Luganda (Ganda) | Blog